Bya Samuel Ssebuliba
Eyali omuyambi wa Gen Kale Kayihura Jonathan Baroza akyaliiira ku nsiko, nga yasulawo nomulimu gwe, wabulanga ne poliisi ekyagenda amu maaso nomuyiggo.
Okusinziira aku kiwanadiiko ekyawerezeddwa eri abaddumizi ba poliisi mu district ezenjawulo, Baroza yali atekeddwa okubeera aku mulimu gyebamutuma mu gwanga lya Algeria nga 10th July wabulanga teyagendayo, nga kiteeka aobulamu bwe mu kabi okumutwalanga nga kiwagi oba deserter.
Bwabadde ayogerako naffe, omumyuka womwogezi wa poliisi mu gwnaga Patrick Onyango agambye nti ennaku 21 ezaweebwa Baroza okutuuka aku mulimu zagwako, kati mumenyi wamateeka ali ku misinde.
Onyango agambye nti ssbapoliisi we gwanga Martin Okoth Ochola kati yanasalawo ekiddako, ku nsonga za Baroza.