Skip to content Skip to footer

Bataano babikiddwa ekizimbe nebafa

Abantu bataano beebafudde ettaka bweribuutikidde abazimbi ku kizimbe e Kansanga.

Omu ku bakawonawo ategerekese nga Charles Mukwana agamba nti babadde basima musingi ettaka neribabikka.

Mukwana agamba nti ekizimbe kino kibadde kumpi n’omwaala kyokka nga tebategedde nti amazzi ganafuyizza omusingi.

Abagenzi bategerekese bategerekese nga Collins Sserugo, Paul Ochen, Musa Bob, Bernard Kabale ne Robert Kakeeto.

Atwala poliisi ye Kabalagala Bernard Mugerwaagambye nti abantu babiri bokka bebasobodde okutaasa nga baddusiddwa mu ddwaliro

Mugerwa agambye  nti bakutte ba yinginiya b’ekizimbe kino babiri okubayambako mu kunonyereza kwebatandise okuzuula oba abakola omulimu guno ogwa Baleke Contractors kyebakola bakimanyi

Leave a comment

0.0/5