Skip to content Skip to footer

Bawagizi ba Paul Mwiru abasoba mu 40 bakwatiddwa.

Bya Kyeyune moses .

Police e Jinja ekakasiza nga bweyakutte abawagizi b’omu kubesimbyeewo mu lw’okaano lwa Jinja East Paul mwiru abawerere dala 48, nga bano yabalanze kwetaba mu kwonoona ebintu, ko n’okukola efujjo.

Bino byabadewo kawungezi kayise , amangu dala nga bano bakakomekereza olukungana olw’akomekereza kakuyege.

Twoyogedeko n’omukwanaganya wa kakuyege wa mwiru nga ono ye  Chula Philemon n’agamba nti bano baakwatiddwa nga bali mukukubaganya ebirowoozo , ko n’okukuba tooki mu kakuyege bwatambuddde .

Kati twogedeko n’adumira police mu kitubndu kya Jinja Gerald Twisimye n’akakasa nti kituufu bano baakwatiddwa, era bagenda kuvunibwa emisango egy’okugezaako okw’onoona ebintu.

 

Leave a comment

0.0/5