Banansi b’eggwanga lya Malawi beesuddemu akambayaya nebagaana okuddamu okugula ebintu mu maduuka gabanansi ba South Africa agasangibwa mu ggwanga lino, olw’ekitta bagwiira ekigenda mu maaso mu ggwanga lino.
Maduuka aga ba south Africa gasigadde magala olunaku olwalero.
Mu kibuga ekikulu Blantyre, poliisi eyiriddwa okusobola okukuuma amaduuka gano.
Abagwiira 7 bebakatibwa mu ggwanga lya south Africa nadala mu kibuga Durban.