Skip to content Skip to footer

Bebaali bagoba bakanyizza badde ku bbali

Bya Benjamin Jumbe

Akakiiko kebyempiliziganya mu gwanga aka Uganda Communications Commission nekibiina ekitaba emikutu gyamwulire, National Association of broadcasters bakanyizza abakozi ku mikutu gyamwulire bebaali baagala bagobwe, nti bajira badda ku bbali.

UCC eriko emikutu gyamwulire 13 gyebalagira nti bagobe abakozi baabwe 3, olwamawulire gebakola wiiki ewedde, omubaka Kyagulanyi bweyali akwatibwa okumutwala mu kooti.

Bano babalanga kumenya mateeka nemitendera egyebigobererwa ku mpewo.

Mu lukiiko lwebabaddemu amakya ga leero bakanyizza nti abakosebwa, bade ku bbali banonyerezebwako okwwukana nekyokugobwa nga bwebaali balagidde

Ssenkulu wa UCC Eng Godfrey Mutabaazi agambye nti okunonyereza kwebaliko, kugenda kutwala ebbanga lya nnaku 30.

Kati ssenkulu wekibiina ekigatta emikutu gyamawulire Kin Kalisa agambye nti, mu kukaanya kwebatuseeko, emirimu gyabwe tegigenda kukosebwa.

Leave a comment

0.0/5