Bya Ruth Anderah
Omuvubuka owemyaka 18 atutte gavumenti mu kooti, ngayagala kuliyirira, ngajinenya olwakakebe ka tear gaasi akamusesedebbula omukono ogwa kkono, bwekamubwatukirako.
Muzafaru Kamakya nga mutuuze we Masajja-Salaama mu diviosn ye Makindye agamba nti bino byaliwo nga October 20th 2017, ku ssaawa nga 3 ez’okumakya bweyali awumuddemu mwasula, kwekulaba akakebe akefanyiriza kalifuuwa.
Mu kugezaako okukekebejja, agambye nti kabwatuka yagenda okutegeera ngali mu ddwlairo e Mulago.
Agabye nti yaddukirako mu kakiiko ke ddembe lyobuntu, wabula nebamutegeeza nti obuzibu bwabwe, kubanga akakebe kayita mu kituli kye dinisa eryali mu nyumba ya jajja awe, poliisi bweyali egumbulula abekalakasi.
Kamakya yali muyizi wa S.3 ku ssomero lya Happy Times Secondary School e Busaabala, ngagamba kyekyamuvirako nokukola obubi mu bigezo bya S4, era kati ayagala gavumenti emuliyire obukadde 22.
Kati kooti eyise ssabawoereza wa gavumenti okwanukula ku misango gino.