Bya Ndhaye Moses
Abatuuze mu East Division mu district ye Mubende bebagobaganya ku ttaka, basabye gavumenti ebaddukirire.
Mu mwezi oguwedde omwaka guno, George Kawaesi agambibwa okubeera nannyini ttaka yasindikiriza abantu abali mu 3000 okuva ku byalo 5 mu kitundu kino.
Akawungeezi akayise, abamu ku batuuze bano babadde ku kitebbe kyaba mbega e Kibuli munnamateeka waabwe Erone Kiiza gyeyabadde ayitiddwa poliisi abeeko engeri gyenyonyolako ku misango egyamuggulwako.
Kati bagambye nti basula ku ttale era basula ku bunkenke obwamaanyi.