Bya Samuel ssebuliba.
Omubaka wa palament owa Kyadondo East Robert Kyagulanyi eyaakadde kubutaka okuva mu America gyabadde ategeezeza nga bwatagenda kukoowa kulwanira dembe ly’abuntu, kko n’endowozaye.
Kinajukirwa nti ono akomyewo leero kubutaka, wabula olutuuse ku kisaawe entebe police neemuyoola , okukakana nga emututte mu magere.
Kati bwabade ayogerako ne banamawulire, Kyagulanyi agambye nti eky’okusigala nga alwana kyakulembeze ku lukalala, kale weyakoma era wagenda okutandikira.
Ono agambye nti ku lw’omukaaga agenda kuwayaamu nebanamawulire, kale wano waagenda okutegereza egwanga kyagenda okuzaako.