Bya Ruth Anderah
Omubaka Kyadondo East mu palamenti Robert Kyagulanyi Sentamu amanyiddwa nga Bobi Wine ayimbuddwa, kooti eya Buganda Road.
Ono ayimbuddwa ku kakalu ka kooti ka kakadde kamu mu mpeke, nabamweyimiridde obukadde 10 ensimbi ezitali za buliwo.
Kooti emulagidde obutaddemu kwetaba mu kwekalakaasa kwonna okumenya amateeka, ngetaddewo olwanga May 23rd omusango gwe lwegugenda okutandika okuwulirwa.
Abantu 3 bebamweyimiridde okuli eyali minister wempisa n’obuntu bulamu Miria Matembe, nababaka Patrick Nsamba ne Mbwatekamwa Gaffa.
Mu kusooka oludda oluwaabi lusabye omulamuzi we ddala erisooka ali mu mitambo gyomusangp guno Esther Nahirya onutyimbula Bobi Wine, nga bagambye nti abajulizi bababdde aleese 3 tebatukiridde.
Omuvunanwa wabula tabadeewo butereevu mu kooti, ngalabikidde ku lutabi, e Luzira gyali okuwlira okusaba kwe kuno okwokweyimirrwa.
Yakwatibwa gyebuvuddeko nga April 26th 2019 nasimbibwa mu kooti ya Buganda Road, navunanibwa okujemera ebiragiro bya poliisi ebiri mu mateeka, nga noluvanyuma yasindikibwa ku alimanda e Luzira.
Okusinziira ku muwaabi wa gavumenti Timothy Francis Amerit emisango yagidiza ku City Square mu Kampala nga July 11th 2018, bweyakulemberamu okwekalakasa okuwakanya omusolo gwa mobile money, nga tategezezza ku poliisi.