Bya Prossy Kisakye
Gavumenti erabudde eyaliko Senkagale w’ekibiina kya FDC Kizza Besigye obutagezako kutataganya mirembe.
Nga ayogerako ne bannamawulire omwogezi wa gavumenti ofwono opondo okulabula kuno akwesigamiza ku bigambo bya besigye bweyavaayo nategeeza nga akalulu bwe katakyayinza kugyako pulezidenti museveni era nategeeza nga guno gwe mwaka ogw’ekiddako.
Okusinzira ku gavumenti ebigambo bya Besigye biraga nti ayagala kumamulako gavumenti eriko wabula opondo amulabudde nti ekyo tekigenda kusoboka kuba tagenda kuweebwa mukisa gwonna kutukiriza bigendererwa bye eby’okutabangula emirembe.