Bya Shamim Nateebwa
Waliwo omusajja akubiddwa essasi ku bulago mu nkayana ze ttaka mu Disitulikiti y’e Kasanda.
Akubiddwa ye Semaganda Saadi 32, mu kiseera kino aleetedwa mu ddwaliro e mulago nga kigambibwa nti abakuumi b’omubaka mu Palamenti owa Kasanda South Simeo Nsubuga be bamukubye essasi ku bulago omubaka bwabadde agenze okulambula ettaka ku byalo Bukoba ne Kika abatuuze kwe bayononeddwa ebintu byabwe.
Kino kidridde abatuuze okuwanjagira omubaka ono okuvaayo abataase ku Hussein Kavuma nyini ttaka gwe bagamba nti abatulugunya.
Abakozi ba Kavuma kigambibwa nti balumbye Omubaka Simeo Nsubuga nga bamulemesa okulambula ettaka lino bwe batyo abakuumibe kwe kukuba Ssemaganda essasi ku bulago naddusibwa mu ddwaliro e mityana nga ali mu mbeera mbi ddala.