Bya samuel Ssebuliba.
Kyaki kooti ekirizza okuyimbula abantu 12 abaakwatibwa mu kulonda kwe Arua municipality , nga kuno kwekuli n’omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi.
Abalala abayimbuddwa kuliko Robert Kyagulanyi, Paul Mwiru, Casiano Wadri, Mike Mabikke n’abalala nga bano kakano balinze kudda waka
Omulamuzi ogubadde mu mitambo Joseph Mubiru bano abasabye okuwa akakalu ka kooti ka bukadde butaano, songa ababeyimiridde baakuwa obukadde 10 nga sizabuliwo.
Wabula ensonga ya Casiano ebademu enkalu, kubanga ono atuuse n’okugaanibwa okuddamu okulinya ekigere mu Arua municipality okumala ebanga lya myezi esatu nga akyanonyerezebwako , kubanga ayinza okugootanya okunonyereza kuno.