Bya Abubaker Kirunda.
Police mu district ye Bugweri etandise okunonyereza ku musajja eyakwatiddwa nga atembeeya akawanga komusajja.
Akwatiddwa ye Patrick Kiyimba omutuuze we Buyebe mu gombolola ye Ibulanku , nga ono abadde n’akawanga k’omugenzi Mikaili Mboli eyafiira ku myaka omukaaga..
Kigambibwa nti ono abadde ayagala kutunda kawanga kano ku mitwalo Shs 50,000/, era nga abadde anoonya musawo wakinansi.
Ayogerera police mu kitundu kino James mubi akaksizza bino.