Bya Shamim Nateebwa.
Tutegeezedwa nga Uganda bweri mu kifo ekyokuna mu mawanga agasingamu omusujja gw’ensiri.
Bwabadde atongoza omukago wakati wa Rotary ne ministry y’ebyobulamu nga guno gwakubunyisa obutimba bwansiri mu Kampala ne Wakiso, akulira entekateka y’okulwanyisa omusujja gw’ensiri mu ministry eno Dr Jimmy Opio agambye nti abantu obukadde 18 bebafuna omusujja guno buli mwaka mu Uganda .
Amawanga amalala kuliko Nigeria ne Congo, nga gano gegamu ku gasingamu omusujja gw’ensiri.
Ono asabye abasawo okwongera okusomesa abantu kungeri n’obukulu bwokulwanyisa omusujja gwensiri.