Skip to content Skip to footer

Omulamuzi Byamugisha aziikwa ku Sande

Byamugisha

Ekitongole ekiramuzi kironze omulamuzi Stephen Kavuma ng’amyuka ssabalamuzi ow’ekiseera oluvanyuma lw’okufa kwa Constance Byamugisha

Byamugisha afudde enkya ya leero oluvanyuma lw’okumala akabanga ngatawanyizibwa ekirwadde kya kokoolo w’amabeera

Zzo enteekateeka z’okumuziika nazo zimaze okufulumizibwa.

omugenzi wakusabirwa olunaku lw’enkya ku ssaawa nnya ku Kkanisa ya Bajulizi e Nakasero

Omulambo gwe olwo gwakutwalibwa e Kabale gyegunaazikibwa olunaku lwa Sande

Cosntance Kategaya Byamugisha afudde obulwadde bw akokoolo w’amabeere ng’omulambo gutwaliddwa ku Case Clinic gyeguli nakati

Ono mwanyina w’eyali minister w’ensonga za East Africa Eriya Kategaya eyafa sabiiti 2 emabega.

 

Leave a comment

0.0/5