Skip to content Skip to footer

Boda Boda 2010 bajitwala mu kooti olw’okufera omuyindi

Bya Ivan Ssenabulya

Ekitongole kya Boda Boda 2010 bakitwala mu kooti lwa bufeere.

Akulira Kampala Metropolitan Internal Security Organization Edris Ssempa agambye nti bano baliko munansi wa Buyindi
gwebajako pikipiki ekika kya Bajaj omutwalo mulamba nebatamusasula.

Agambye nti eyali abakulira Adallah Kitatta yabula okumala omwezi mulamba, nga tanakwatibwa nga nakati tasasulwanga.

Okwogera bino abadde asisinkanye aba Boda Boda e Mukono.

Mu nsisinkano eno aba Boda Boda begaanye, byebazze babalumiriza nti bebali embaga wobutemu mu gwanga.

Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni nabakulembeze balala bazze bavumirira aba Boda Bod anti bebakozesebwa mu kutemula abantu.

Leave a comment

0.0/5