Bya Samuel Ssebuliba.
Ekitongole ekiramuzi kitegeezeza nga bwekitunuulidde ebyuma ebikali magezi nga ekubo lyokka erigenda okukendeeza ku nsimbi zebakozesa buli mwaka.
Kinajukirwa nti bano balina entekateeka ya myaka etaano ey’okuteka ebyuma bikali magezi mu makooti, kale nga kino kyakukendeeza ku nsimbi zebateeka mu by’entambula nga baleeta abasibe okuva mu makomera, kko nensimbi zebateeka mu kugula kko n’okukuuma empapula.
Twogedeko n’ayogerera ekitongole ekiramuzi Solomon Muyita naagamba nti ebyuma ebijja kuliko ebigenda okutekebwa e luzira nebirara bibeere wano mu makooti, kale nga omulamuzi asala emisango nga abasibe abalabira ku TV mu makomera gyebali.
Ono agambye nti mu kaseera kano bakafuna obuwumbi 8 mu mwaka gwebyensimbi oguwedde, songa nomwaka gwebyensimbi guno basuubira okufuna obuwumbi obulala 6