NABWERU
Bya Ruth Anderah
Abantu 12 nga kuliko nabakazi 2 bavunaniddwa mu maaso gomulamuzi wa kooti eye Nabweru, ku ttemu eriganye okukoma omufiridde abakazi 9 mu munispaali eye Nansana mu distrct eye Wakiso.
Abavunanwa basomeddwa emisango 11 okuli obutujju, obutemu, obubbi nobwa kondo.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joan Keko lutegezezza kooti nti bno emisango bajiza wakati womwezi Ogwokutaano No’gwomunaana omwaka guno, 2017 e Nansana, Kazo ne Kawempe.
Bano kigambibwa balina ekigerendererwa okutekawo obunkenke mu gwanga, okutabangula embeera yebyobufuzi nebyenfuna betaba mu bikolwa ebyokutemula abantu.
Abantu abatemuddwa mu bbanga lino kuliko Patricia Nansubuga, Maria Birungi, Teddy Nakachwa, Juliet Nampijja, Josephine Nakazibwe nabakazi abalala 4.
Kigambibwa bano, banyaga nebintu bybagenzi omuli omufaliso, essimu ezomungalo 2, bulangiti 2 amasuuka nebiralala nga bibairiwamu emitwalo 10.
Kati bano babadde mu maaso gomulamuzi Jamson Karemani abadde mu mitmbo kulwa munne Esther Nansambu owe Naweru atabaddeewo.
Karemani abavunanwa tabaganyizza kuneyga kigambo kyonna kubanga emisango gyabwe gya naggomola, nga giwulirwa kooti enkulu yokka era yeyinza okubawa okweyimirirwa.
Kati baziddwayo e Luzira okutuusa ngennaku zomwezi 12th omwezi guno, ngokunonyererza bwekugenda mu maaso.
