Bya Sam Ssebuliba
Mu ditrict ye Kanungu waliwo abatamanya ngamba abalumbaganye entaana yomugenzi eyazikibwa emyaka 6 emabega, nebagimenya ssanduuko nebagireka ku ngulu.
Bano efujjo balikoze ku malaalo go’mugenzi Stephen Mukombe, eyaziikibwa e Kameme mu muluka gwe Kibimbiri mu district eye Kanungu.
Ayogerera police mu bitundu bya Kigezi, Elli Matte agambye nti omugenzi yatibwa butibwa mu mwaka gwa 2006 era abantu 6 nebakwatibwa olwe ttemu lino, nga kyewunyisa baani abaamenye entaana eno.
Poliisi etegezezza nti okunonyereza kukyagenda mu maaso.