Bya Ivan Ssenabulya
Abantu abatanaterekeka, bayingiridde ennyuma yomubaka wa owa munispaali eye Mukono esangibwa ku kyalo Kavule, mu ggombolola yamasekati gekibuga Mukono.
Betty Nambooze says ategezezza nti yasobodde, okulaba abasajja babiri, ababdde bambadde bi kabuuti ngobulumbaganyi buno bwabaddewo mu kiro ku ssaawa nga mwenda ezekiro.
Bano basoose kujjako masanyalaze, nga kigambibwa omukuumi wa waka bamukubye ne kalifoomu nazirika, nga mu kaseera kano ali mu ddwaliro ajanjabibwa.
Kati abalumbaganye bagezezaako okuyingira mu nnyumba nga bayita mu galagi, wabula obudde, oba alamu nekaaba olwo nebadduka.
Poliisi yasobodde okujja ku maka gano, okwekennenya embeera.
Omuddumizi wa poliisi e Mukono Rogers Sseguya agambye nti okunonyererza kugenda mu maaso.
Nambooze ategeezezza nti poliisi etekeddwa okuvaayo okubabuliira kiki ekiviriddeko obumenyi bwamateeka okweyongera mu kitundu, ngatebereza nti buno bulabika ssi bubbi obwabulijjo ekiterezebwa nti babadde nekigendererwa ekiralala.
