Skip to content Skip to footer

Boda boda baziwadde ennaku 7 okwetereeza

Bya Ndhaye Moses

Ab’obuyinza mu Kampala batandise ku ntekateeka zokulongoosa omulimu gwa boda boda.

Abagoba ba boda boda ne bannayini zo, bawereddwa ennaku 7 okutereeza ebiwandiiko byobwananyini naabo abatigatiga pikipiki zaabwe bazietereeze.

Kino kitandikidde Rubaga, ngomubaka wa gavumenti Habert Handson Burora agambye nti bagala okulwanyisa obubbi bwa pikipiki nokulongoosa omulimu.

Gyebuvuddeko akakiiko ka palamenti akavunayizbwa ku byokuzimba kalagira aba KCCA okujja pikipiki mu asekati gekibuga.

Leave a comment

0.0/5