Mu district ye Iganga waliwo e motoka ekika kya Fuso ekwatidwa nga ekubyeko obugule bw’obwenyanja obuto.
Emotoka eno namba UAR-963c ebade eva ku Nyanja Nalubaale okwolekera disitulikiti ye Busia, era nga ebadeko tani z’ebyenjanja ezisoba mu munaana.
Twogedeko ne Imiran Tumusiime nga ono yakulira ebikwekweto mu ofisi ya minister akola ku byenvuba, naatutegeeza nti basobode okukwata abantu 2 abade ku motoka eno .