Bya Ruth Andera
Eyakubye aba KCCA baakwasisa amateeka amayinja asibiddwa ennaku 40 mu kkomera.
Barata Mugisha avunaniddwa nebanne abalala bassatu bo abeganyi omusango nebasindikibwa ku alimanda e Luzira okutuusa May 16 omusango gutandike okuwulirwa.
Bano bavunaniddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende abasomedde omu nakiriza ate ababiri nebagwegaana.
Kkooti ekitegedeko nti bano abasatu nga April 26th 2017 ku Nabugabo mu Kampala beyisa mu ngeri etali yakintu kiramu nebakuba aba KCCA enforcement amayinja.