Bya Prossy Kisakye,
Obwakabaka bwa Buganda busasidde era ne buvumirira ebikolwa eby’obutemu ebitusiddwa mu Gen Katumba Wamala enkya yaleero, bwabadde ava mu makaage mu bitundu bye Kisaasi.
Abatamanya ngamba balumbye emotoka ya Gen Katumba Wamala ne bagisindirira ebyaasi ebitiddewo muwalawe Brenda Nantongo ne driver we Hassan Kayondo ate Gen Katumba Wamala navaawo n’ebisago era naddusibwa mu ddwaliro gyaali nakati.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bwabadde ayogerako eri bamawulire olwaleero ku mbuga enkulu e Bulange e Mengo, agambye nti government etekeddwa okukola okunonyereza okuzuula abantu abakoze ekikolwa kino era bavunanibwe.
Katikkiro era asabye government okumyumyula emitendera gyonna egiyitibwamu abantu okufuna emundu, kuba kati mu kiseera kino emundu nyingi mu bantu.