Ettendekero lya Buganda Royal institute liggaddwa
Ab’ekitongole kya Kampala Capital City Authority beebaggadde ettendekero lino lwa nsonga za bujama
Abakungu ba KCCA basoose kulambula ttendekero lino erisangibwa Mengo Kakeeka n’oluvanyuma nebassaako kufulu zaabwe okulaga nti baliggadde
Kawefube w’okwogerako n’omwogezi wa KCCa Peter Kawuju agudde butaka kyokka ng’ababadde ku ttendekero lino bategeezezza nga kasasiro bw’asusse nga n’empitambi ekulukulitira mu batuuze.
Twogeddeko n’abatuuze era nga yadde si basanyufu olw’obujama, tebakkiririza mu kyaggula ttendekero lino
Okuggala kuno kuzze ng’abayizi bali mu luwummula.