Bya Benjamin Jumbe
Olukiiko olwa waggulu, olwekibiina kya NRM, olwa Central Executive Committee, lugenda kutuula olwaleero mu maka gobwa pulezidenti Entebbe.
Olukiiko luno lugenda kukubirizibwa ssentebbe we’kibiina NRM Yoweri K. Museveni nga lugenda kutandika ssaawa 1 ezemisana.
Ebimu ku biri ku mwanjo mu lukiiko luno, yensonga yomuntu ekibiina gwekigenda okuwagiraku kifo kya sipiika wa palamenti eyomulundi ogwe 11.
Palamenti yataddewo olunnaku olwanga 24 May okulonderako sipiika, nomumyuka we ngomukolo gwakubeera ku kisaawe e Kololo.
Omwezi oguwedde, amuwlire agava mu kafubo aketabamu abadde sipiika Rebecca Kadaga nomumyuka we Jacob Oulanyah galaga nti ababiri bano bava mu mbeera okweyogerera amafukuule.
Kadaga yalumiriza Oulanyah okwebulankanyanga ku mirimu nokwagala okutambulanga emitala wamayanja buli kadde, nasulirira emirimu gye.
Bano balai ku mbiranaye, bavuganya ku kifo kyekimu.