Bya Sam Ssebuliba
Ekifananyi: Kijiddwa mu bikadde
Ministry ye’byobulamu ekakasizza okubalukawo kwekirwadde kya Cholera mu district ye Tororo ne Malaba.
Bino webijidde ngabantu 7, ezaabwe baavunise abasing kyebabadde bogeddeko ngekirwadde kyebatategeera.
Bwabadde ayogera eri palamenti akakwungeezi kano, minister omubeezi owebyobulamu Sarah Opendi akakasizza nti bekebejezza abalwadde mu ddwaliro e Tororo era nekizuuka nga cholera.
Minister kino akitadde ku nkuba ettonnya obutasalako ekivuddeko obuligo mu bantu.
Wabul ategezeza nti ministry tetudde ekola ekisobola okulwanyisa ekirwadde kya cHolera obutasasaana.