Poliisi ekutte dereeva w’omubaka we Rubaga mu bukiikakkono Moses Kasibante .
Ono abadde avuga motoka ebadde eranga olukungaana lw’ategese e Nakulabye okwebuuza ku bantu ku nongosereza mu mateeka g’eby’okulonda
Kasibante agambye nti yawandiikira poliisi okugitegeeza ku lukungaana kale nga tewali nsonga ate lwaki abantu be bakwatibwa
Wabula yye omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti Kasibante kituufu yabawandiikira kyokka ekifo ky’ayogerako kirimu abantu bangi nga kiyinza okutataganya emirimu gy’abantu