Ab’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya Democratic Party eky’okukyuusasuusa mu baminisita okwabaddewo ku nkomerero ya wiiki ewedde bagamba kwabadde kuddira mwenge gukatuuse neguteekebwa mu ccupa empya.
Mu nkyukakyuka zino abamu ku ba minisita baasuliddwa nga kuliko eyabadde abadde minisita w’ebyensimbi Maria Kiwanuka n’abadde ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi .
Ekibiina era kikyewuunya engeri Philemon Mateke gyeyagonomoddwako obwaminisita ku myaka 92.
Omwogezi w’ekibiina kya DP Kenneth Paul Kakande agamba bannayuganda tebasanye kusuubira bingi kuva eri baminisita bano abapya.
Ono era ategezezza nga eky’okuzza Jim Muhwezi nga minisita bwekiraga nga gavumenti bwetalina kigendererwa kyonna kyakulwanyisa buli bwanguzi.