Bya Ruth Anderah,
Ssabawaabi wa gavt Jane Frances Abodo aggye emisango gyobulyake egibadde givunanibwa sentebe wa kakiiko akavunanyizibwa ku bwenkanya aka Equal Opportunities Commission Sylvia Muwebwa Ntambi.
Ekiwandiiko ekijja ku Ntambi omusango kiweereddwa omulamuzi Margaret Tibulya nga kiraga nti DPP omusango takyagulinamu bwetaavu
Ntambi abadde avunanibwa ne bakozi banne 9 ku bigambibwa nti bekobaana okunyaga ensimbi za gavt ezisoba mu bukadde 35.
Kigambibwa nti ensimbi ezogerwako bazesasula nga akasiimo bwebali babaga ebinagobererwa akakiiko mu kulwanyisa mukenenya