Bya Damalie Mukhaye
Aba FDC basabye minister omubeezi owebyentambula, Gen. Katumba Wamala okwetondera banna-Uganda nomubaka wa munispaali eye Mityana, Francis Zaake bweyamukakanyeko okumutujja zzi musolola ndaggu, wakati mu kavuvungano akaliwo.
Waliwo ebifananyi bya TV ebyalaze Gen. Katumba ono, ngawuttula omubaka Zaake, nga mu kiseera kino ali mu ddwaliro ajanjabibwa.
Bwabadde ayogerera mu lukungaana lwabannamawulire, ku kitebbe kyekibiina e Najjanankumbi, omumyuka womwogezi wekibiina Paul Mwiru agambye nti Katumba Wamala yewadde omulimu gwabebyokwerinda.
Wabula Gen Katumba Wamala azze yegaana nti teyakubako mubaka Zaake.