Bya Malik Fahad
E Bukomansimbi police ekutte abantu abasoba mu 50, wakati mu kaweefube owokulwanyisa obumenyi bwamateeka.
Abakwatiddwa okusinga baggidwa mu bitundu nga Kagologolo, Kawooko, Butenga ne Bukomansimbi newalala.
Twogedeko ne Lameck Kigozi ayogerera Police yeeno gamba nti obumenyi bwamateeka bubadde bususse mu kitundu kino, kale kwekusalawo okukola ekikwekweto nga kino.
Ono agamba nti kyebazaako kwekusengejja abakwatiddwa, abanasangibwa nga bazzi ba misango ba lulango bavunanibwe.