Bya samuel ssebuliba.
Oyo ye Elli matte ayogerera police ye Kigezi.
Mu district ye Rubanda Police eyigga abasajja 3 nga bano bagambibwa okukakkana ku munaabwe wa myaka 57 n’ebamutta.
Bano bagambibwa okutta David Bangomwabo omutuuze we Gwakamu mu gombolola ye Muko nebamutematema nga ensonga zeekusa ku nkayana za taka.
Okunonyereza kwa Police okusooka kulaze nga ono bweyalina enkayana z’etaka nekizibwewe Enock Kwelikweli , nga ono kigambibwa nti yeyeekobaanye n’abalala okuli Viane ne Reuben nebamutta n’oluvanyuma nebaduka.
Ayogerera police yeeno Elli matte agamba nti bano okumutta bamuusanze ava kulunda nte nebamutemako obulago, kyoka akaana keyabede nako ak’emyaka 10 kekaategeezeza abatuuze ebyabadewo.
Mukaseeea kano omuyigo gugenda mu maaso.