
Bya Damalie Mukhaye :E Makerere abasomesa kko n’abayizi abasoba mu 90 boolekedde okukwatibwa nga ensonga yakwenyigira mukujingirira bubonero bw’abayizi.
Kino kidiridde akola ku by’ensoma Alfred Namoah Masikye okuwandiika ebaluwa nga 7th September nga alagira akulira eby’okwerinda e Makerere Jackson Muchuguzi okukwata bano bonna.
Abagenda okukwatibwa kuliko abasomesa 44 . kko n’abayizi 44 , wamu n’akolanga akola ku byamateeka.
Kinajukirwa nti abayizi bano bwebaali balabiseeko mu kakiiko akanonyereza ku by’okubba obubonero,baategeeza nti kino baakikola nga bayambibwako abasomesa.
Yye akola ku by’okwerinda e Makerere Jackson Muchuguzi agambye nti akadde konna wakutandika okukwata bano.