Skip to content Skip to footer

Besigye Asiibye Iganga Nga’noonya Akalulu

Bya Damalie Mukhaye

Munna FDC Dr Kizza Besigye asaby ebalonzi be Iganga okulonda kulwe nkyukyuka.

Besigye nbakulu abalala mu kibiina olwaleero babitaddemu engatto nebolekera e Iganga  okunonyeza omuntu waabwe akalulu akokujjuuza ekiffo kyomubaka omukyala owa District, ekikalu.

Besigye awerekeddwamu Patrick Amuriat Oboi, omubaka we Buhweju Francis Mwijukye nomukunzi wabawagizi mu kibiina Ingrid Turinawe ssako Lord mayor wa Kampala Erias Lukwago.

Omumyuka wa ssabawandiis wekibiina Harold Kaija atubuliidde nti bakubye enkungaana mu cbitundu nga Idudi, Ibulanku, Busembatya nemu ssza lye Bugweri, ngakawungeezi kano bamlidde  mu kibuga kye Iganga.

Abantu 5 bebavuganya ku kifo kino, wabulanga embiranye eri wakati wa munna FDC Mariam Naigaga nowa NRM Brenda Asinde.

Leave a comment

0.0/5