Bya Damali Mukhaye.
Nga ebula enaku ntono Makerere etandike okutikira abaana sabiiti ejja, tukitegedeko nti eby’ambalo byabaana bano bifuuse by’abbula.
Kinajukirwa nti amatikira gano ag’omulundi ogwe 69 gakutandika nga 15th okutuuka nga 18th wabula nga abaana bonna balina okugula gawuni ezakoleddwa e Makerere.
Twogedeko n’abayizi abagenda okutikirwa nebatutegeeza nti basiibe beewuba Makerere okufuna gawuni zino , wabula nga babategeeza kimu nti balinde ziwedewo
Twogedeko n’amyuka akulira etendekero lino Prof Barnabas Nawangwe naagamba nti ensonga eno ekoledwako kale nga abaana baddembe okutandika okuzikima