Bya Damali Mukhaye.
Ekitongole ekya Kampala Capital City Authority kitegeezeza nga bwekigenda okutandika okugaana ebimotoka ebitambuza amafuta okwesaaza mu Kampala emisana.
Twogedeko n’akulira KCCA Jennifer Musisi, nagamba nti ebimotoka bino byabulabe eri ekibuga , nadala singa ekimotoka kino kikwata omulliro.
Ono agamba nti kumugoteko gw’ebiduka oguli mu Kampala, okutambuza amafuta kyabulabe, kale nga kirina okukoma.
Kati ono agamba nti okuva na leero ebimotoka bino byakutambula kiro.