Bya Ivan Ssenabulya, Okuvuga boda boda empya mu munispaali y’e Mukono kuwereddwa, mu budde obw’ekiro.
Ekiragiro kino kiyisiddwa abakulembeze ba boda boda, okulwanyisa obutemu obubakolwako n’obubbi bwa pikipiki.
Ssentebe wabagoba b boda boda mu masekati ga Mukono Musasizi Moses, agambye nti etteeka lino ligenda kutandikirawo okukola.
Abagoba ba bodaboda bangi mu bitundu byeggwanga ebyenjawulo abaze bategebwa ne babatemula nga kwogase okukuulita ne piki zaabwe.