Bya Franklin Draku
Ebibiiina by’obwanakyeewa bisabye Ssabapolice we gwanga omujja Martin Okoth Ochola okwanguwa okulongoosa ekifananyi kya police kyebagamba nti kibade kiwedewo.
Bano okuvaayo kidiridde okugobwa kwa Ssabapolice abadeko Gen Kale Kayihura, nga kwogasse ne mune bwebaba kumbirannye era minister w’obutebenkevu Gen Henry Tumukunde.
Twogedeko n’akulira omukago ogugatta ebibiina byobwanakyeewa ogwa NGO Forum Richard Ssewakiyranga n’agamba nti omukulu Ochola agwana kutandikira ku ky’akusanyaawo obubinya nga Flying squade , ba crime preventers, songa mungeri yeemu agwana azeewo ne special investigations department nga kino kyekitongole ekinonyereza kubuzzi bw’emisango.
Omulala ayogedde ku nkola ya Gen Kale Kayihura ye Livingston Sewanyana akulira Foundation for Human Rights initiatives.
Ono ategeezeza nga omukulu ono police bwebade emuzitoweredde, obutemu nebufuuka obutemu ,kyoka n’alemwa n’okunonyereza ku bantu ababade beefudde ekirara mukumenya office z’ebitongole by’obwaakyeewa bino.