Skip to content Skip to footer

Ebitongole bya gavumenti byonna biwagidde ekyomusolo ku Mbile money

Bya Moses Kyayune.

Kyadaaki government etegeezeza nga bwepererezza ebitongole bya government byonna nebikiriza eky’okuwagira omusolo ogwa nusu ebitundu 0.5% kunkola eya mobile money.

Bino byogeddwa minister omubeezi akola ku by’ensimbi David Bahati  bwabadde alabiseeko mu kakiiko akakola ku byensimbi.

Kinajukirwa nti mukusooka ebitongole bya government ebikola ku by’ensimbi omuli ne banka enkulu ey’egwanga byawakanya eky’omusolo guno era newabaawo akatuubagiro

Wabula kati leero minister ategeezeza akakiiko kano nti obutakaanya buno bwakoledwako, era nga ebitongole byonna bikaanyiza ekyokuwagira omusolo guno.

Leave a comment

0.0/5