Bya Opio Kaleb.
Abantu be Buyende basabiddwa okufuba okukuuma obuyonjo beetase endwadde eziva ku bujama
Kuno okusaba kukoleddwa omubaka wa pulesident owa Buyende Fred bangu bwabadde alangirira ebyalo 14 ebikakasiddwa nti abantu baamwo bonna baafunye kabuyonjo.
Ono agamba nti abantu bangi batwala ensimbi nyingi mukwejanjaba endadde ez’obujama, kyagamba nti kigwana kukyusibwa nga abantu bewala obukwadde.