Skip to content Skip to footer

Eddogo terikola mu byabufuzi- Bannaddiini

File photo: Sejusa na boluda oluvuganya
File photo: Sejusa na boluda oluvuganya

Waliwo omusumba w’abalokole mu bukiika kkono bw’eggwanga awadde bannabyabufuzi bonna abagenda okwesimbawo amagezi okwewalira ddala okukozesa eddogo okusendasenda abalonzi okubawagira kubanga obukulembeze buva eri mukama Katonda.

Paasita  James Ochan agamba nga okulonda kwa 2016 kukubye kkoodi bannabyabufuzi bangi beyuna eddogo okubawanguza neberabira Katonda eyabatonda.

Agamba abo bonna abakozesa eddogo tebasobola kubeera bakulembeze balungi.

Ono era atabukidde bannabyabufuzi abaleeta ebyobufuzi mu Kanisa ne ku mikolo gy’okuziika.

Leave a comment

0.0/5