Skip to content Skip to footer

Eddwaliro elya Nakasero litubidde mu mabanja.

By Ruth Anderah.

Waliwo omujaasi nanyini kizimbe okuli edwaliro elya Nakasero hospital agenza mu kooti ekola ku by’obusubuzi, nga agamba nti bano balemeddwa okumusasula ensimbi obukadde  600. 

Gen. Joram Mugume  nga yenyini kizimbe kino agamba nti okuviira dala nga October- December 2017 abadde tafuna nsimbize ezobupangisa, kale nga kwekusalawo okubatwala mu kooti.

Gen. Mugume  agamba nti bweyalaba nga embeera etabuse kwekubawandiikira nga July 10, 2017 nga abasaba okwamuka ekizimbekye, kyoka nakakano bakyaganye okugenda.

Wabula amyuka akola ku nsonga z’okutabaganya  abasowaganye Vincent Mugabo omusango guno aguzizza mu kooti ekola ku misango egy’abulijjo, sosi kooti ekola ku misango egy’obusubuzi nga bweyabadde awaabye

Leave a comment

0.0/5