Skip to content Skip to footer

Ekanisa ya uganda etenderezza obuwereza bwa Luwumu.

 

Bya Samuel Ssebuliba.

E mikolo emikulu egy’okujukira omugenzi eyali ssabalabirizi wa uganda Janan Luwumu  gikomekerezedwa  nga gino gibadde wali e Mucwini mu kitgum district.

Bwabadde abuulira ,Ssabalabirizi we kanisa ya uganda kitafe mu katonda Stanly Ntagali agambye nti  situgaanye  uganda esingamu abantu abakiririza mu  yesu christu, naye bangi kubanayuganda ate ku katonda omulamu  bagatako e mpeekera, ky’agamba nti kikyamu era nga kigwana kukoma.

Ono agambye nti bangi bakiristu lw’amanya, wabula ekiro basiiba mu masabo, enguzi baagifula mere yaabwe, obunyazi n’okusambirira edembe lyobuntu kwebatambulira -kyagambye nti kikyamu.

Bwatuse ku ssabalabirizi Janan Luwumu  amwogedeko nga akabonero akalaga obuvumu obuli mu kigambo kya mukama, kubanga ono bweyabutambulirako egwanga lyatuuka ku mirembe .

 

Leave a comment

0.0/5