
Abawagizi b’eyali ssabaminisita Amama Mbabazi olutalo balututte mu kkooti
Ahmed Washaki, Habib Wambede ne Abdullah Kutosi bataddeyo omusango mu kkooti enkulu e Mbale nga bagaala kiragiro kikkiriza Muntu waabwe kwetaaya
Bagaala kkooti era erangirire nti ba ddembe ba ddembe okutuuza enkiiko n’okwogera ku bibakwatako era nga si na musango okukolagana ne Mbabazi.
Abakulu bano abasatu bagamba nti Mbabazi munnayuganda era wa ddembe okwebuuza ku bantu, kko n’okukuba enkiiko era nga bagaala kkooti bino byonna erangirire nti bituufu era poliisi emenya mateeka okubalemesa