
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyaalo Kacwamango mu gombolola ye Kigando mu distulikiti ye Mubende abafumbo babiri bwebatemuddwa abazigu nebakuliita n’emitima gyaabwe.
Abagenzi kuliko Manuel Tumwesigye ng’abadde wa myaka 60 egy’obukulu ne mukazi we Lilian Bereta ow’emyaka 50.
Abazigu babalumbye amaka gaabwe agasangibwa e Kacwamango mu Kigando n’ebabatematema ebiso ng’ebifuba byaabwe byasaliddwamu emirundi ebiri emitima gyaabwe abazigu nebakuliita n’ebitundu ebilala.
Ssentebe w’ekitundu kino Emmanuel Byabagambi agambye nti embeera eno ebasobedde kyokka nga bbo abatuuze basabye ab’ebyokwerinda okunonya abazigu bano bavunaanibwe.
Abagenzi balese abaana bataano ng’omuto Aliwo Wusirasi ow’emyaka ekkumi abaddewo ekiro ng’abazigu batta maama ne taata we.