Bya Prossy Kisakye
Abavubuka okuva mu kibiina kye by’obufuzi ekya alliance for national transformation bakoze bulungi bwansi mu katale ke bugoloobi ng’ebimu ku bikujuko eby’okutongoza ekibiina kino
Ekibiina kino nga kikulemberwa munnamaggye maj. gen. mugisha muntu kya kutongozebwa nga 22rd omwezi guno ng’emikolo gyakubeera ku woteeli ya serena mu kampala oluvanyuma lw’okukakasibwa akakiiko ke by’okulonda
Akulembeddemu abavubuka bano Zeridah Kakayi ategezeeza nti bulungi bwansi nga bayita mu kulongoosa ebitundu kimu ku bikujuko eby’okwetegekera okutongoza ekibiina kyabwe ate era kabonero akalaga nti beetegefu okuwereza bannauganda mu buli ngeri
Kakayi mungeri yemu ategezeza nti kino bakikoze okwongera okumanyisa bannauganda ku bikwata ku kutondebwawo kw’ekibiina kino