Bya Samuel ssebuliba.
Omubaka wa Parliament owa Arua municipality Kasiano Eziati Wadri leero ategeezeza nga bwagenda mu mbuga z’amateeka okuwakanya ekiragiro kya kooti ekyamugaana okugenda mu kitundu gyakikirira.
Kinajukirwa nti kooti bweyali eyimbula abasibe 33 abateberezebwa okukola obuvuyo mu kulonda kwe Arua nga kuno kwekwali ne Kasian, omulamuzi Joseph Mubiru yamuteekako akakwakulizo nti tagezza nayita mu kitundu gyakikirira okumala ebanga lya myezi 3, kubanga ayinza okutabula okunonyereza kwa police ku nsongaze.
Kati Wadri agamba nti amaze okukwatagana ne banamateekabe , era nga leero agenda kudda mu kooti awakanye akakwakulizo kano.
Kati ono agamba nti tayinza kwebalama bantube abaamulonda okumala ebanga lino lyonna, kale nga ayagala omulamuzi addemu atunule mu nsonga zino.