Skip to content Skip to footer

Ekikyalemezza obwavu mu uganda, songa abaana basomye.

Bya Samuel Ssebuliba.

Ebyava mu kubala abantu  okwakolebwa mu  2014 byalaga nti bannayuganda ebitundu 58% bali mu wakati w’emyaka 14 and 64 , wabula nga kubano obukadde 10 tebakola

Okunonyereza kw’ekumu kwalaga nti ebitundu 47% abali wakati w’emyaka 14 and 64 tebakola, era nga tebalina suubi lyakufuna mirimo.

Kati kino kyekireetedde abantu bangi okwebuuza nti newankubadde emirimo gitondebwawo, lwaki ebbula ly’emirimo liringa ely’ongera okukula.

Gy’ebuvudeko minisita akola ku by’ensimbi Matia Kasaijja yagamba nti okumalawo omutawaana guno okutandika n’omwaka gw’ebunsimbi ogujja okusikiriza bamusiga nsimbi tekugenda kwesigamizibwa ku musolo gwebaleeta, wabula emirimo gyebagenda okutondawo.

Minisita agamba nti omuwendo gwabavuvuka abatalina mirimo gusuza gavumenti nga teyebase, anti-kati akadde konna bayinza okufuuka obulabe.

Mu mwezi guno ekitongole ky’ensi yonna ekikola ku by’enkulakulana ekya UNDP kyateeka mukono ku ndagaano ne minisitule ekola ku kikula ky’abantu okugunjaawo enkola eya Graduate volunteer scheme, okusobozesa abaana abatikiddwa okufuna obumanyirivu ku mirimo

Pius Bigirimana nga ono ye muwandiisi wenkalakalira mu minisitule eno agamba nti abaana abasing balemeddwa okukola , nokufuna emirimo, kubanga tebaamanyi byebakola kubanga tebabangulwa kimala.

Kati ono agamba enkola eno yakuyamba abavubuka okuvaayo nga babangule ekimala era nga betegefu okukola.

Bbo abavubuka betwogedeko nabo bagamba nti engeri gyebasomesebwamu ey’okubasomesa ebikwate tebagasa, songa abalala bagamba nti okwagala ebyamangu kiviirideko abavubuka okudukira mu zaala okukakana nga eby’okukola bibalemye.

 

 

 

 

Leave a comment

0.0/5