Bya Ndhaye Moses
Abatuuze ku kyalo Bukoba mu gombomola ye Magara mu maserengeta ga Mityana bali mu kutya, oluvanyuma lwokugwamu ekimbe ekitanaba kutegerekeka.
Omubaka wekitundu kino Henry Makumbi Kamya ategezezza palamenti, nti abaana abakazaliibwa, bamyukirira, oluvanyuma nebafa.
Agambye nti abaana 14 bebakafa mu mbeera eno, mu kabanga akatono akayise, nga kino kitaddewo obwelaikirivu mu bantu.
Kati asabye ministry yebyobulamu okuvaayo okunonyereza ku kirwadde kino, n’okukikomya.
Mungeri yeemu omubaka Henry Makumbi Kamya alopedde palamenti, ku kirwadde ky’omusujja okyewanika amatanga.
Kati omumyuka w’omukubiriza wa palamenti Jacob Oulanyah yalagidde minister webyobulamu okunyonyola, wabula minister omubeezi Sarah Opendi nasubiza okubaako kyatangaaza ku songa zino olwaleero.